Breaking
News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa News: Omubaka akiikirira Nansana Municipality mu Palamenti Munnakibiina ki National Unity Platform Zambaali Bulasio Mukasa avuddeyo nasaba Gavumenti
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 353 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

FDC etabukidde Minisita Jim Muhwezi kuyasaze eddiiro okwegatta ku NRM

March 12, 2023 · Mubiru Ali
Minisita Maj. Gen Jim Katugugu Muhwezi yavuddeyo nategeeza nga bweyayanirizza Henry Mugarura okuva mu Kibiina kya Forum for Democratic Change – FDC eyazzeeyo mu Kibiina kya National Resistance Movement – NRM nga ono abadde ku ludda oluvuganya okuva mu 2001. Muhwezi yategeezezza nti nga Ssentebe wa NRM mu Disitulikiti y’e Rukungiri yamusanyukidde nnyo okulaba nga akomyeewo.
Wabula ono ekibiina kya FDC kyamwanukudde; “Agabbi ga NRM twagamanyiira, kyetumanyi obulungi nti mu bukulembeze bwaffe obwa FDC mu Disitulikiti y’e Rukungiri tetulinaamu Mugarura Henry.
Jim amanyiddwa obulungi nti yanyaga obuyambi bwa GAVI aveeyo abuulira Eggwanga ekifo kya Henry mu bukulembeze bwa FDC ne nnamba ye ey’ekibiina.”