Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 386 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Eyeewambye n’asaba obukadde 4 agombeddwamu obwala – Kyegegwa

May 2, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi mu Disitulikiti y’e Kyegegwa ekutte omukazi Nyangoma Angella ow’emyaka 36 omutuuze mu Ggombolola y’e Mpala e Kyegegwa eyeewambye okumala ennaku bbiri n’ekigendererwa eky’okufuna ensimbi obukadde buna (4) okuva ku kitaawe asasule Looni gyeyewola okuva mu Black.

Alozius Irumba Taata wa Nyangoma ategeezezza nga muwala we bweyabula ku Sande era n’akubirwa essimu okuva eri omusajja gweyali tamanyi eyamutegeeza nga bwebawambye muwala we Nyangoma Angella n’amulagira aweereze obukadde bw’ensimbi buna asobole okufuna muwala we nga tebannamutta kwekuddukira ku Police.

Akulira Poliisi enkulu e Kyegegwa Muhimbura Milton akakasizza okukwatibwa kwa Nyangoma era nga kati aggudwako omusango gw’okwewamba n’okuwa amawulire agasasamaza.