Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 450 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Eyeewambye n’asaba obukadde 3 Police emuyodde

April 25, 2018 · Mubiru Ali

Ebikolwa by’okwewamba efuukidde ddala ensonga mu bitongole by’ebyokwerinda nga wetwogerera,  kumpi ebitongole by’ebyokwerinda okwetooloola eggwanga bifuna emawulire gano nga waliwo omuntu atakubikako kimunye.

Wetwogerera nga ekyakasembayo okubaawo kiri Mbarara nga Police eriko omukazi gw’erina mu mikono gyayo agambibwa okwewamba nga ono ye Mellon Nabaasa ow’emyaka  omutuuze ku kyalo Katete ekisagibwa mu Divizoni y’e Nyamitanga mu Munisipaali y’e Mbarara.

Nabaasa yeewamba nga 06 Omwezi guno  nga ayagala obukadde busatu n’ekitundu okuva mu b’oluganda lwe era ng’abadde akozesa munne Komuhangi okusaba ssente zino era ng’alaga nti abaamuwamba nebamutwala e Lyantonde era abantu be nebaweereza ensimbi zino ku nnamba ya Nabaasa ( Omuwambe).

Wabula ab’oluganda lwa Nabaasa ensonga eno baagiyingizaamu Police era nebalondoola ennamba ye ( Tracking), okukizuula nga ali Isingiro gyeyekukumye ( gyeyeewambira) era nebamuyoola, kati emikono gyazze dda gyegitawemera  ntungo ne munne nga bali ku Mbarara Central Police Station.