Breaking
News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambuddeko ku Emmanuel Kalidinaali Wamala, mu ttuntu lya leero, mu maka ge e Nsambya. News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana News: Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda nga bakulembeddwamu Eggye lya UPDF ssaako ne
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 300 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Eyavuma President Museveni aleeteddwa mu kkooti

October 31, 2018 · Mubiru Ali

Namata Susan 21 nga mutuuze w’e Najjeera mu Kira Municipality mu Wakiso District asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Stella Maris Amabilis navunaanibwa omusango gw’okukozesa obubi Computer saako n’okuvvoola wamu n’okuvuma nga akozesa omukutu gwa Internet.

Kigambibwa nti mu mwezi gw’omunaana 2018, Namata nga ali ne banne mu Kampala ne Wakiso bakwata akatambi nebatandika okukasasaanya nga basaba era wamu n’okufaananya omukulembeze w’eggwanga HE. Yoweri Kaguta Museveni amakugunyu, empitambi wamu n’omukutiisatiisa nti bajja kumukubisa ebitundu byabwe eby’ekyaama ku mannyo gge ebintu ebyawulikika nga bimuwemula saako n’okumutyoboola.

Omusango gwokubiri Namata yakozesa bubi internet nga asaasanya akatambi ku whatsapp ekyatataganya eddembe ly’omukulembeze w’eggwanga.

Namata yakwatibwa nga 27-August abasirikale okuva ku CPS aba Tracking essimu ye era nga abadde akuumirwa ku Poliisi. Emisango gyombi agyegaanye era omuwaabi wa Gavumenti nategeeza nti okunoonyereza kwa Poliisi kukyagenda mu maaso. Omulamuzi amusindise e Luzira ku alimanda gyanaava enkya adde okusaba okweyimirirwa.