Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Awali Omukka
Now Playing Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Eyavuga abatemu ku pikipiki mukwate

August 16, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi y’e Mukono bakutte omuvuzi wa Boda Boda agambibwa okuba nga ye yavuga abatemu abatta omukyala omu China Yei Su 50, mu Sept – 2017. Rashid Mugaya yakkirizza nti yeyavuga mukwano gwe Fred Kaluga amanyiddwa nga Mulefu Ngatukaya Edward nga ono ali Luzira nga bagenda ku Nile Steel and Plastic Limited Factory n’ekigendererwa eky’okubba ssente bazigabane.

Ono yagiddwa Banda gyabadde yekwese okumala emyezi 1 wamu ne Piki piki egambibwa okuba nga gyebakozesa nayo yakwatiddwa. Ye Fred Kaluga yakwatibwa ku kigobero weboleza emotoka e Banda era nga yasangibwa ne Pistol era mukwekenenya kyazulibwa nti y’emu eyakozesebwa okukuba Yei Su amasasi 4 agamusangibwamu era nga Kaluga yakkiriza nti yeyamukuba amasasi gano. Ono era yagamba nti yenyigira mu bubbi ku Gimitex e Banda nga akozesa Pistol enjigirire.

Kigambibwa nti Pistol gyeyalina nnamba 201862/606 eyabibbwa okuva ku Supervisor wa Saracen ku Royal Van Zaten Limited factory y’ebimuli esangibwa e Namayiba Mukono. Abalala abakwatibwa kuliko; Ogwal, Kataala Naluuda, Omara ne Musinguzi era nga bano nabo basibwa bali Luzira.