97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

eyatta omwana e wakiso bbiri asimbiddwa mu kkooti

Deo Mukisa Makumbi aka Dennis Kabanda yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti y’e Wakiso n’avunaanibwa omusango gw’okutta omwana Elvis Kibuule eyali owa muganzi we Zibra Namusoke naye gwe yatta omulambo n’aguziika.
Omulamuzi Doreen Kalungi yeyasomedde Mukisa omusango gw’okutta omwana Kibuule nga kino yakikola wakati wa January 25, 2019 ne January 30, 2019 e Kireka Bbira mu Wakiso.
Omulamuzi Kalungi teyaganyiza Mukisa kubaako ky’ayogera kuba omusango ogumuvunaanibwa gwa nnaggomola era nga guwulirwa Kkooti enkulu yokka era bwatyo n’amusindika ku alimanda mu kkomera e Kigo okutuusa nga March 20, 2019.
Mukisa yakwatibwa abajaasi aba CMI n’akkiriza okutta omwana Kibuule wamu ne nnyina Zibra Namusoke gwe yaziika e Masaka omulambo bwe gwazikulwa oluvannyuna lw’okusooka okubalimba nti yamuziika mu Lubigi.
Oluvannyuma lw’okumukwata poliisi yazuula ebifaananyi by’abawala ab’enjawulo mu nnyumba ya Mukisa n’abuuzibwa amayitire gaabwe.

About Mubiru Ali

Leave a Reply