Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,221 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Eyatta mukyala we akaligiddwa emyaka 25 – Mbale

December 20, 2016 · Mubiru Ali

Waliwo omusajja mu mu buvanjuba bwa Disitulikiti y’e Sironko olwaleero akaligiddwa emyaka 25 egikulungule mu nkomyo lwa kutta mukyala we.

Henry Gidudu akaligiddwa Omulamuzi David Wangutusi e Mbale , obujulizi obumuluma bwebukakasizza nti yatta mukyalawe Catherine Nadunga mu mwezi gwa Muzigo mu ย 2010.

Wabula nga Gidudu tannasalirwa kibonerezo kino, munnamateeka we Isaac Nabende yali yasaba Omulamuzi amuwe ekibonerezo ekisaamusaamu asobole okulabirira abaana baabwe ababiri kubanga nnyaabwe yafa.

Wabula Annet Namatovu omuwaabi wa Gavumenti n’asaabulula okusaba kuno era n’asaba Kkoooi ewe Gidudu ekibonerezo ekya emyaka 25 mu nkomyo kibe ekyokulabirako eri abasajja abalala abatirimbula bakyala baabwe .