Abubaker Karungi 47, nga mubazzi mu bitundu by’e Bulenga asomeddwa emisango ebiri okuli okutta Muhammad Kirumira wamu n’omukyala Resty Mbabazi b’agambibwa okubakuba amasasi ng’ayambibwako banne abakyanoonyezebwa mu bitundu by’e Bulenga mu Wakiso.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwaamu Josephine Nanyonga lutegeezezza kkooti nti Karungi ng’ali wamu be banne abakyanoonyezebwa baasindirira emmotoka ya Kirumira amasasi ne gamuttirawo wamu ne Mbabazi nga 8 September 2018.
Omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti e Wakiso, Martin Kirya y’asomedde Karungi omusango n’amulagira obutabaako ky’ayogera kuba omusango ogumuvunaannibwa gwa nnaggomola oguwulirwa kkooti Enkulu.
Ono asindikiddwa ku limanda e Kigo wakati mu byokwerinda eby’amaanyi era waakuzibwa nga 19 October 2018 okuwerennemba n’emisango.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.