Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 154 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Eyatta abantu 5 asibiddwa emyaka 100

December 13, 2023 · Mubiru Ali
Kkooti enkulu mu Kampala ekalize Musa Musaasizi ow’emyaka 25 emyaka 105 mu nkomyo ku misango gy’okutta abantu 5. Musa eyali omwana wo kunguudo yakirizza okutta banganzi be 4 n’omwana we omuwala ow’emyezi 3.
Kigambibwa nti emisango gino Musaasizi yagizza mu bbanga lya mwezi gumu e Nakulabye mu Zooni ya Mujomba mu Rubaga wakati wa 22/ 02 2021 ne 25 / 03/ 2021.
Wabula ono mu nkomyo wakumalayo emyaka 135 olw’okuba nti yali yasingisibwa dda omusango gw’okutta omuwala omulala era n’aweebwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 30.
Wabula ku kibonerezo kino ebbanga ery’emyaka 2 n’ekitundu lyamaze mu kkomera lyakusalibwako.