Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 249 listening Simba FM Live

Eyasangibwa ng’akalirira Enkima akaligiddwa emyaka 3

May 4, 2016 · Mubiru Ali

Ayusi Ssuuna yasangibwa mu kibira kye Kitubulu e Ntebe ng’akalirira Enkima naagombebwamu obwala abaserikale b’ebibira.

Omusajja ono bwasimbiddwa mu kooti mu maaso g’omulamuzi mu kwewozaako kwa n’agamba nti ye Enkima yagiggya ku kkubo ng’etomeddwa mmotoka era nti ye ekika kyabwe kirya Enkima.

Wabula Omulamuzi ebyo naabigaana era naamusindika mu nkomyo akuluunguleyo emyaka esatu.