Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 459 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

eyasalwa obuseke yetuze oluvannyuma lwa mukyala we okumugamba nti ali lubuto

January 25, 2019 · Mubiru Ali

Ronald Mutaka 38, nga ono abadde Parish Chief wa Kigalama Parish, mu Sub – County y’e Namutumba mu Disitulikiti y’e Namutumba yasangiddwa ku lunaku olw’okusatu nga alengejera ku muti gw’omuyembe.
Mutaka okweyimbamu ogwa kabugu kyavudde ku mukyala we okumutegeeza nga bwalina olubuto lwe. Rogers Mutaka nga ono muganda wa Mutaka agamba nti mugande we oluvannyuma lwakabanga nga ali ne mukazi we wabula nga tamufunyisa lubuto yagenda mu basawo abakugu yebuuze ekyamutuukako era eyo gyebakamutemera nga bwatakyasobola kuzaala olw’enkola y’okukutula obuseke gyeyagendako nga akyali muvubuka etasobola kumukirizza kuddamu kuzaala wadde nga emirimu gy’ekisenge yali akyasobola okugikola obulungi. Ono bweyavaayo teyabuulirako mukyala we.
Mutaka agamba nti babadde basazeewo okugenda okulaba omusawo ow’ekinnansi balabe oba asobola okumuyamba nga era ekizibu kino eky’obutaba na mwana abadde akigumidde emyaka 15 nga ali mubufumbo era nga mukyala we abadde akiddingana lunye nga bwagenda okunoba singa tamufunyisa lubuto.