Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 157 listening Simba FM Live

Eyapangisa omuccuba okutuulira muwala we ebigezo bamulagidde asasule obukadde 4

October 24, 2022 · Mubiru Ali
Omulamuzi wa Kkooti y’Eddaala erisooka etuula e Nabweru alagidde omukyala Amina Nalwadda okusasula engasi ya bukadde 4 mu emitwalo 80 lwakupangisa muyizi, Emmanuel Bagenda ali mu S.3 ku ssomero lya St Janan Luwum Secondary School atuulire muwala we Hyuda Namuwonge ow’essomero lya Kawempe Standard Secondary School ebigezo bya S.4 ebigenda maaso.
Nalwadda yasasula Bagenda emitwalo 350,000 nga bano okukwatibwa kyadirira omulambuzi wamasomero agali mu bigezo okusanga ekigezo kya Bagenda nga kiriko erinnya lya Namuwonge. Omulamuzi agambye nti amuwadde ekibonerezo kino n’abasuubira okukikola bafune ekyokuyiga.