Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 275 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM
News

Eyamize eddagala lyamaanyi gekisajja limusse

July 25, 2023 · Mubiru Ali
Kitalo!
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo omusajja ow’emyaka 30 ategeerekese nti ye Ouma Justus ngabadde muvuzi wa booda booda ku kyalo Buwaya mu Bumunyi Parish, Masinya Subcounty mu Disitulikiti y’e Busia eyafiiridde mu Lodge oluvannyuma lwokumira eddagala ly’embavu z’abasajja nga ayagala akube ekinakanaka ne munne amuwulire asobole okumukekemya obukoko.
Kigambibwa nti Ouma yamaze enaku 3 ne muganzi we Auma Carolyne, 25, ngono bweyagenze okusisimuka ku ssaawa nga kumi na bbiri ezokumakya okunyeenya ku munne luddemu lukoye nga yafudde dda.
Bategeezezza mangu Poliisi y’e Masinya eyazze netwala omulambo mu Ddwaliro lya Masafu General Hospital okwekebeggyebwa era nekizuulibwa nti yesibye omutima olw’eddagala lyamaanyi g’ekisajja.
Enanga akubirizza abasajja okwewala okukozesa eddagala lyebasanze buduuka bw’eddagala kuba lingi ku lyo liba terigezeseddwa era nga lyabulabe eri obulamu bwabwe. Ono abasabye okusooka okulaba omusawo omukugu nga tebanakozesa ddagala lino.