Eyalumba Omulabirizi Luwalira azziddwayo ku alimanda

Kkooti ya Mwanga II e Mengo ezzeemu okusindika ku alimanda omusajja Herbert Kaddu agambibwa okulumba Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Namirembe Wilberfore Kityo Luwalira ku kusaba kw’amazuukira ga Yesu Kristu mu Lutikko e Namirembe.

Kino okubaawo kiddiridde Omulamuzi wa kkooti eno Julius Mwesigye okulemererwa okuwulira okusaba kwa Kaddu okw’okweyimirirwa oluvannyuma lw’aboobuyinza okumuleeta ku kkooti ekikeerezi nga omulamuzi ayongeddeyo olutuula lwa kkooti okutuusa nga 14 Muzigo 2018

Kaddu avunaanibwa emisango esatu omuli ogw’okutiisatiisa okukola obulumbaganyi ate n’okutaataaganya okusinza katonda, awo nno oludda oluwaabi lugamba nti Kaddu ono nga mutuuze w’e Mengo mu Divizoni y’e Lubaga nga 01 Kafuumuulampawu yalumba woolutaali e Namirembe ng’akutte ekiti n’adduka ng’ayolekera Omulabirizi Luwalira ne Rev. Canon Benon Kityo Dean w’obulabirizi wabula katonda n’azza bibye kaddu ono bweyagwa ennume y’ekigwo .

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Bobi ne babaka banne