Breaking
News: Eyaliko Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among avuddeyo ku bibadde bitambuzibwa nti alina akabaga kategese Nkitegeddeko nti waliwo abategese News: Chris Obore ne banne abalala bakiriziddwa okweyimirirwa ku nsimbi ezobuliwo obukadde 30, okuwaayo ekyapa kye ekyamakaage age Kiwanga wamu ne News: Omusuuga Charles Kamurasi Bajja wano nga batugamba nti ekiragiro kivudde wa CDF Muhoozi Kainerugaba.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 288 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Eyaliko Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among avuddeyo ku bibadde bitambuzibwa nti alina akabaga kategese Nkitegeddeko nti waliwo abategese

September 9, 2026 · Radio Simba

🗳️ Eyaliko Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among avuddeyo ku bibadde bitambuzibwa nti alina akabaga kategese; “Nkitegeddeko nti waliwo abategese akabaga ku lwange. Njagala okubategeeza nti tewali muntu yenna gwenalagidde kutegeka kabaga mu linnya kyange. Ebyo byonna ebyogerwa sibituufu.”

Gen. Muhoozi Kainerugaba; “Tewajja kubaawo kabaga konna ka AAA. Tujja kukwaya oyo yenna anenyigira mu byekisiru ebyo! Okusonyiwa omuntu tekitegeeza nti tebalina misango gitanaggwa.”

Among; “Mwanyinaze Gen, tewali nteekateeka yonna yakabaga ekoleddwa nze oba abantu bange. Mukama akukuume!”

Hon. Nameere Justine Nsubuga; “Eri Gen. Muhoozi Kainerugaba, nsaba okutangaaza nti akatambi ako akatambuzibwa nga kakwata ku Kabaga akategekeddwa nti AAA kajingirire. Oyo yenna eyakuleetedde ye mulabe wo asooka era ayingiza CDF omulamba mu bintu ebyobulimba…..”

🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

Radio Simba News