Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 320 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Eyaliko omubaka Katinti asindikiddwa mu kkomera lwa bbanja

July 4, 2019 · Mubiru Ali
Eyali omubaka wa Kyaddodo East Apollo Kantinti eyawangulwa Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine yasindikiddwa ku mmeere e Luzira lwakulemererwa kusasula bbanja okumala emyaka 3.
Ono singa alemererwa okusasula ebbanja ery’obukadde 260 wakumala munkomyo emyeezi mukaaga. Kigambibwa nti Katinti yewola obukadde 300 okuva mu Standard Chartered Bank mu June 2016.
Ono yalina okusasula ssente zino mu bitundutundu bya mirundi 50 mu myaka 4 n’amagoba ga bitundu 25 ku 100.
Mu May omumyuka w’omuwandiisi wa Kkooti enkulu mu Kampala Flavia Nabakooba yayisa ekiwandiiko ki bakuntumye okukwata omubaka ono era nakwatibwa nga 27 June.