Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 330 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Eyaliko Katikkiro wa Buganda Mayanja Nkangi afudde

March 6, 2017 · Mubiru Ali

Eyaliko Katikkiro wa Buganda, Joash Mayanja Nkangi afudde enkya ya leero mu ddwaliro e Nakasero, era  nga abasawo bagamba nti  ekirwadde kya Pneumonia kyekimuggye mu bulamu bwensi eno .

Mayanja Nkangi yali katikkiro wa Buganda mu 1966 mu biseera Obote weyawangangusiza Ssekabaka Mutesa 11  nga alumbye Olubiri lw’ e Mengo. Yaliko Minisita w’ebyensimbi Ku Gavumenti eya wakati , yaliko Ssaabawolereza wa Gavumenti era Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyamateeka, ate era Ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa Ku by’ettaka mu ggwanga.

Yannyuka obuweereza bwe ku mirimu gya Gavumenti mu 2014  nga aweererezza emyaka 50 era afiiridde ku gy’obukulu 85.

Anajjukirwanga nnyo mu Bwakabaka bwa Buganda awamu ne Yuganda okutwalira awamu. Kitalo.