EYALI YESIMBYEEWO KU KIFO KY’OMUBAKA YETUZE

Pinterest LinkedIn Tumblr +
KITALO!
Eyesimbawo ku kifo ky’Omubaka wa Palamenti mu Disitulikiti y’e Sironko yasangiddwa olunaku lw’eggulo akawungeezi nga yetugidde ku muti kwa kkedo mu maka ge.
Amani Magombe nga mutuuze ku kyalo Bubalinga eyavuganya ku kifo ky’omubaka wa Budadiri West yeyasangiddwa nga yetuze.
Francis Wandeka, Ssentebe w’ekyalo Bubalingaga agamba nti ono abadde mutuuze we era nga alina ne bizineesi e Busia nti era yakomawo awaka we ku bbalaza era batandise okunoonyereza okumanya kiki ekyamuleetedde okwetuga.
Share.

Leave A Reply