Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 412 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Eyali Omubaka wa Butambala era omumyuuka wOmukulembeze wa National Unity Platform owamassekatti ga Uganda Hon.

June 1, 2026 · Radio Simba

🚨 Eyali Omubaka wa Butambala era omumyuuka w’Omukulembeze wa National Unity Platform owamassekatti ga Uganda Hon. Muhammad Muwanga Kivumbi aleeteddwa ku Kkooti y’Ensi yonna ewozesa bakkalintalo mu Kampala okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa. Kivumbi avunaanibwa omusango gw’obutujju oluvannyuma lwabantu 7 okufiira ewuwe nga 15 January 2026 mu kalulu ka bonna. Muwanga avunaanibwa n’abantu abalala 24, oludda oluwaabi lugamba nti bano bayonoona ekitundu ku luguudo lwa Gomba – Butambala ssaako nkwonoona emotoka za Gavumenti nekigendererwa ekyokutiisatiisa wamu n’okunyigiriza Gavumenti ssaako n’abantu ababulijjo olwebigendererwa ebyebyobufuzi, ebyenfuna oba embeera z’aabntu.
Muwanga ne banne bakama emyezi kumpi 5 ku alimanda mu kkomera e Luzira.
Bya Christina Nabatanzi

🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

Radio Simba News