Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 1,066 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Eyali CAO wa Ibanda atwaliddwa mu Kkooti lwakugaba ttaka

September 28, 2022 · Mubiru Ali
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi wamu n’obukenuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force bitutte Matsiko Mutwingire Abert, eyali CAO wa Disitulikiti y’e Ibanda wamu ne Nuwagira Tom, District Natural Resources Officer mu Kkooti evunaana abali b’enguzi nabakenuzi ku misango gyokukozesa obubi offiisi zaabwe.
Kigambibwa nti bano bekobaana begaba ettaka eriweza hectares 13 eza Ibanda Forest Reserve eri Rukokoma Mixed Farmers Cooperative Society nga tebasoose kufuna biwandiiko bituufu kukola kino.