Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 700 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Eyalemererwa okuzimba eddwaliro ly’e Lubowa aweereddwa kkontulakiti yakugula mmwaanyi

April 14, 2022 · Mubiru Ali
Ababaka ba Palamenti bavuddeyo nebalaga obutali bumativu bwabwe ku ndagaano eyateekebwako omukono wakati wa Gavumenti ne Uganda Vinci Coffee Company Limited. Okusinziira ku kiwandiiko ekyateekebwako omukono nga 10-February-2022, Ramathan Ggoobi secretary to the Treasury ku lwa Gavumenti ya Yuganda nga ye Enrica Pinetti, omusigansimbi okuva e Yitale era Ssentebe wa bboodi ya Uganda Vinci Coffee yeyateekako omukono ku lwa kkampuni. Pinetti, ye mukyala ali emabega w’okuzimba eddwaliro ly’e Lubowa eritandikanga kuzimbibwa so nga Palamenti yaliyisiza ensimbi empitirivu.
Kkampuni eno yaweebwa ettaka eryobwereere mu Industrial and Business Park e Namanve oluvannyuma lwokulaga obusobozi bwokutandikawo ekkolero erirongosa emmwaanyi mu Kampala. Kkampuni eno yaweebwa obuyinza okugula emmwaanyi za Yuganda nga Gavumenti tenatunuulira kkampuni ndala yonna era nga kkontulakiti yaabwe eggwako nga 2032 olwo eryoke ezzibwe obujja.
Okusinziira ku Mubaka Abed Bwanika, agamba nti endagaano eno eyakolebwa tekiriza muntu yenna kugula mmwaanyi, teri mulala akirizibwa kuzitwala bweru okujjako nga Kkampuni eno emaze kuweza obungi bw’emmwaanyi bweyetaaga. Ayongerako nti Kkampuni eno yakumala emyaka 10 nga tesasula musolo ggwonna mu Yuganda okuli; Income tax, Pay As You Earn, Excise duty, ne NSSF.
Bwanika ayongerako nti Kkampuni eno yaweebwa ebbeeyi yaayo eyamasanyalaze ya cent 5 buli unit nga era yakuweebwa ssente zegenda okukozesa okuzimba etterekero ly’amazzi, enguudo so nga terina musolo gwewadde ggwanga.