Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 241 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM
News

Eyakwatibwa olwokuyuza ebifaananyi bya Museveni e Busia akirizza omusango

October 3, 2025 · Mubiru Ali

Mustafar Manirabuka 33, asimbiddwa mu maaso g’Omulamuzi wa Kkooti e Busia Thomas Okoth nakiriza omusango gwokuyuza ebipande byakwatidde ekibiina ki National Resistance Movement – NRM bendera ku kifo kya Pulezidenti, Yoweri Kaguta Museveni.
Oludda oluwaabi lutegeezezza nti Manirabuka yakozesa akambe okusala ebipande nga 22-September-2025, ekikontana nakawayiro nnamba 80(2) aka Presidential Elections Act.
Manirabuka ategeezezza Kkooti nti ye ne famire ye banoonyeza Museveni akalulu wabula balinze okumala emyaka 5 okusasulwa nga buteerere.
#ffemmwemmweffe