Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 715 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Eyakuba muwala we akabazzi ku mutwe n’amutta agombeddwamu obwala – Jinja

February 19, 2018 · Mubiru Ali

Police e Jinja kyaddaaki egombyemu obwala omusajja  Mawazi Bogere ow'emyaka  42 agambibwa okutta muwala we wa myaka 14 n'oluvannyuma n'abulawo nga kino kyaliwo mu gw'omwenda gw'omwaka oguwedde.

Bogere, nga ono mutuuze wa ku kyalo Wakalege ekisangibwa mu ggombolola ye Mufubira yaddira muwalawe n'amujja mu buliri n'amutwala n'amusiba emiguwa n'atandika okumufumita ebiti mu bitundu by'ekyama n'oluvannyuma n'amukuba akabazzi ku mutwe n'afiirawo.

Police okuva olwo ebadde ku muyiggo gwa Musajja ono okutuusa olwaleero lw'etemezeddwako abantu abakolera mu katale e Jinja era bw'etyo n'esitukiramu ng'eyatega ogw'ekyayi n'emugombamu obwala era kati akuumirwa ku CPS e Jinja.