Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 182 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Eyagulawo omukutu gwa Facebook mu mannya ga IGP akwatiddwa

June 27, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi ekutte Geoffrey Kalele omutuuze w’e Namutumba nga ono abadde yagulawo omukutu gwa Facebook mu mannya g’omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola wakati w’omwezi gwa March ne June nga era abadde agukozesa okubba abantu mu bitundu eby’enjawulo.

Omwogezi wa CIID CP Vincent Ssekate agamba nti Kalele abadde akozesa omukutu guno okuwa abasirikale ba Poliisi ab’enjawulo era nga bangi babadde babigoberera nga tebamanyi nti mufere.

Oluvannyuma lw’okukwatibwa Kalele akiriza omusango era nategeeza Poliisi nti abadde akozesa omukutu guno okufuna n’ensimbi okuva mu bantu ab’enjawulo nga era abadde yakakungaanya emitwalo 700,000/= zeyakozesa okusasula fees z’abaana be Term eno.