eyagula GTB bagyenda yamukubira ssimu

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ababaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti akavunaayizibwa ku bitongole bya Gavumenti olunaku lw’eggulo lwekamalirizza okunoonyereeza ku mivuyo egyaali mu kugalawo n’okutunda Bbanka eyookutano eya GTB kwezo 7 ezaggalwa mu bukyamu eziri mu kunonyerezebwako akakiiko kano akakubirizibwa omubaka Abdu Katuntu.
Wabula ekyatabudde ababaka kwekukizuula nti mu kutunda Bbanka ebbiri eya Global Trust Bank n’eya National Bank of Commerce abaguzi Justine Bagyenda yabakubira bukubizi ssimu nga talina gweyeebuuzizzaako era nebasendasenda nebagula Bbanka ezo.

Share.

Leave A Reply