Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 438 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Eyafumbiza muwalawe ow’emyaka 14 akwatiddwa – Buyende

February 9, 2017 · Mubiru Ali

Police e Busoga mu Disitulikiti y’ e Buyende eriko omusajja gwegombyemu obwala lwa kwekkiriranya n’afumbiza muwalawe ow’emyaka oluvannyuma lw’omuvubuka eyali amufunyisizza olubuto.

Okello Kakuusi kigambibwa nti yali yafuna akakadde kalamba okuva eri  Masanga Mukisa eyali yafunyisa muwalawe olubuto wabula ate oluvannyuma neyeekyusiza mu kiti ng’embazzi n’amuwa omusajja omulala nga n’olubuto aluggyemu.

Okello yasaba Masanga akakadde kamu mu emitwalo asatu alyoke amuwe muwalawe ono era Masanga n’asasulako akakadde wabula ekimuggye enviiri ku mutwe kwekuleeta emitwalo asatu agaasigalayo n’asanga ng’omuwala baamumugabako, era ensonga kwekuzitwala ku Police.

Ye omwogezi was Police mu bitundu by’e Busoga, Afande Micheal Kasada agamba nti Okello agenda kuggulwako emisango omuli ogw’okuyambako okuggyamu olubuto, n’okufumbiza omwana atanneetuuka.