Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 295 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Eyabba ssente mu Speke apartments alwatiddwa

January 6, 2021 · Mubiru Ali

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi ya Jinja Road bwekutte Adome Jeremy, 36, ku bigambibwa nti yabba emitwalo 8 egya ddoola okuva mu Room 107 mu Speke Apartments Wampewo.
Kigambibwa nti Ssente zino zabbibwa ku Sheila Nandege 36, eyali apangisizza apartment okumala enaku 30 okuva nga 5-December-2020.
Okusinziira ku katambi okuva ku CCTV akakwatibwa nga 24-December-2020, Adome nga naye asula ku kizimbe kyekimu yayingira room 7 b’omuntu omulala atanakwatibwa, era oluvannyuma balabwako nga bafuluma n’ebintu era oluvannyuma Adome yaddukira mu Arua. Poliisi yamuyigga era nemusanga mu maka ge olunaku lw’eggulo nebamusanga n’emitwalo 6 egya ddoola egyebiccupuli.
Adome alumirizza nti ssente zebamusanze nazo zeezo zeyaggya mu 107. Poliisi egamba nti etandise okukinoonyerezaako nga bwenoonya munne.