Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 1,246 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Eyabba omwana wa myezi esatu agombeddwamu obwala

June 1, 2017 · Mubiru Ali

Police e Kayunga egombyemu obwala omukazi wa myaka 23 eyabba omwana wa myezi esatu ku bazadde be ssabiiti bbiri emabega  mu ggombolola y’e Busana.

Omwana ono yamubba ku bazadde be Wangolo Andrew ne Nabukeera Aidah nga batuuze ku kyalo  Namukuma ekisangibwa mu Ggombolola y’e Busana mu Disitulikiti y’e Kayunga  oluvannyuma lw’okwefuula ow’oluganda mu maka gano era olwamuwa omwana asitulemu ne yeemulula busota naye

Omusasi waffe Kato Vincent e Kayunga atutegeezezza nti omukazi ono atasiba zikweya nga ye Shadia Namwanje Nakato abuulidde Police nti yabba omwana ono asobole okumutwalira muganzi we gwabadde asiba  akatambaala ku maaso nti alina olubuto lwe.

Police egamba nti Namwanje emukwatidde  Kasawo nga yeekukumye ewa Ssenga we so  nga n’omwana asangiddwa mu mbeera mbi era atwaliddwa mu ddwaliro ly’e Kayunga afune obujjanjabi .