Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 137 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Ettemu lisattiza abakulembeze – Mubende

July 1, 2016 · Mubiru Ali

Ettemu erisukiridde erikolebwa ku batuuze e Mubende lisattiza ssentebe w’eggobolola y’ekigando nga n’abatuuze libatadde ku bunkenke .

Kino kiddiridde omuvubuka omu ali wakati w’emyaka 18-25 okusangibwa ku faamu y’omutuuze omu g’atemuddwa nga n’omulambo bagusuddeko embuzi gy’ateeberezebwa okubeera nga gy’abadde abbye .

Muzoola Aaro Ssentebe w’eggobolola ye Kigando mu diditulikitiye ye Mubende annyonnyodde nti ettemu luno limweraliikirizza olw’ensonga nti buli luvannyuma lwa sabbiiti wabaawo omutu attibwa mu kitundu era nga obuzibu buvudd kukubulwa ba Ssentebe b’ebyalo abakola . Wano awanjagidde Gavumenti okukola ku kulonda obukiiko bw’ebyalo obuggya mu bwangu okulaba ng’etaasa obuamu bw’abantu mu kitundu kino ย .

Police y’e Mubende omulambo eguggyewo n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Mubende nga n’okunoonyereza bwekugenda mu maaso .