Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 400 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ettemu e Mubende lyeyongedde, abasajja 2 battiddwa mu ntiisa

March 5, 2018 · Mubiru Ali

Police e Mubende eri ku muyiggo gwa bantu abatannategeerekeka abasse bannaabwe n'emirambo nebagisosenka mu kitoogo ne mu kibira.

Abagenzi kuliko Mbaziira Zziwa ow'emyaka 20 era nga ono abadde muvuzi wa boda-boda nga abadde akolera ku stage yo mukyenda mu ggombolola y'e kitenga, no'mulala omu atannategeerekeka mannya nga ye omulambo gwe gusangiddwa mu kibira e Kisombwa mu ggombolola y'e Kibalinga mu Disitulikiti y'e Mubende. 

Mbaziira Zziwa kati omugenzi, abadde avuga pikipiki ''Bajaj Boxer'' era nga kigambibwa nti waliwo abantu babiri abaamupangisizza abatwale e Kakumiro nga ono omulambo gwe gusangiddwa mu kitoogo ku mugga Nkuse ogwawula essaza lye buweekula ku Bunyoro.

Emirambo gyombiriri egibadde gijjudde ebiwundu ku mutwe ne mu bulago Police e Mubende egiggyeeyo n'egireeta mu ggwanika ly'e ddwaliro ly'e Mubende nga bwengenda mu maaso n'o kunoonyereza.