Ettemu e Lugazi

Abatuuze b’e Lugazi Kinyoro ku kyalo Sunset baguddemu ensisi bwebasanze mutuuze nga asaliddwasaliddwa nga ali mu kitaba ky’omusaayi.

Henry Nsubuga ng’abadde akedde okugenda okukola yasangiddwa omuyizi abadde agenda ku ssomero ku ssaawa nga 6:20 ez’okumakya. Ono amaze kuwulira mba nga zirwangana, bwatuusewo azisanze zinywa musaayi.

Nsubuga atemeddwa emabega ku nsingo, emikono gyombi wamu n’enkizi era nga abadde asigaddeko kikuba mukono. Ssentebe w’ekitundu kino akubidde DPC Benson Nsibambi aweereza basajja be nebaddusa omusajja ono muddwaliro ekulu e Lugazi okufuna obujanjabi.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Justice Mwangusya awakanyizza eteeka ku kkomo ly’emyaka