Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 624 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Etteeka ly’okukoma ku baana 4 terisoboka mu Yuganda – Omusumba Sserwadda

December 29, 2016 · Mubiru Ali

Nga bannayuganda beeteekerateekera okumalako omwaka guno 2016, abakulembeze b’enzikiriza bavuddeyo nebalaga ebintu ebyetaaga okutunuulira mu mwaka oguggya 2017.

Omusumba Joseph Sserwadda ow’ekkanisa y’abalokole eya Victory Christianity Center agamba nti enteekateeka eya Gavumenti okubagawo etteeka eruwaliriza abakyala okukoma ku baana abana, terijjakukola okujjako nga abasajja ababazaalamu abaana babalaayebulaayi olwo lwebanaafuna abaana abana bokka.

Sserwadda agamba nti enkola eno eyinza obutayamba nnyo mu Yuganda nga bwebakyetaaga. Okwogera bino abadde awa obubaka bwe obwokufundikira omwana.

Ate bwatuuse ku kyempisa, n’avumirira ebikolwa ebyokusiiwuuka empisa ebikudde ejjembe naddala ebirabikira mu mpapula z’amawulire ebitakyalimu kukwatibwa nsonyi kwonna.