KUNO SIKUMENYA TTEEKA: https://youtu.be/fE4r52lvjz4
Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM okuli ababaka abaggya abakalondebwa wamu n’abakulembeze abamu ab’ekibiina okugeza nga Richard Todwong ne Jacob Oulanyah nga bonna bantu babulijjo abatabeerangako mu maggye ga Ggwanga balabiddwako nga babambadde ebyambalo by’eggye lya Uganda People’s Defence Forces – UPDF mu lusirika e Kyankwanzi.
Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP abawerako bakwatibwa lwakusangibwa nabintu ebyefaananyiriza eby’amaggye omuli enkofiira emyuufu n’ebirala.
Tubuuza kuno sikumenya tteeka lya UPDF ACT ku kyabantu abatali b’amaggye okwambala ebyambalo bya UPDF oba ebyefaananyiriza eby’amaggye? https://youtu.be/fE4r52lvjz4
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.