Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 199 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

ettaka lya UBOA si muhangi yekka – uboa

January 9, 2019 · Mubiru Ali

Abakulira ekibiina kya UBOA nga bakulembeddwaamu Ssentebe waabwe Hajji Hamimu Ssentongo bavuddeyo ku ttaka lya ppaaka ya bbaasi okuli ekizimbe kya Qualicel Bus Terminal erikkaayanirwa. Ssentongo agamba nti ekibiina kino kigatta kkampuni ez’enjawulo okuli Horizon ey’omugenzi Charles Muhangi. Yagambye nti Muhangi nga Bammemba abalala alina migabo nga wadde y’abadde ffeesi yaalyo si lirye ng’omuntu, ettaka lya UBOA.Yagambye nti baawulidde nga Pulezidenti Museveni agenda kusisinkana Drake Lubega ne Nnamwandu kye bagamba nti kikyamu kubanga tekuli nnannyini ttaka mutuufu.