Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 255 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

essuubiryo zambogo sacco yakuwagirwa gavumenti

February 8, 2019 · Mubiru Ali

Obwakabaka nga buyita mu Minisitule y’Abavubuka, Emizannyo n’Eby’okwewummuza, butaddewo enkolagana ne Minisitule ya Gavumenti eya wakati ey’Eby’ensimbi, Okuteekateeka, n’Enkulaakulana okuwagira Sacco y’abavubuka eya Essuubiryo Zambogo Sacco.
Mu bimu kubituukiddwako;
✓Okwongera amaanyi mu kittavu nga bawola ensimbi Sacco zeewa ba memba ku magoba amatono ddala.
✓Okuyambako ekitongole kino okuggulawo amatabi amalala okwetoloola Buganda.
Okusomesa abantu okutereka, okufissa, wamu n’okubasomesa okwekulaakulanya.
✓Okuzimba obukugu mu nzirukanya y’emirimu mu Zambogo Sacco.
Bino bituukiddwako mu nsisinkano ey’etabiddwamu Minisita w’abavubuka, Emizannyo n’Eby’okwewummuza, Oweek Henry Sekabembe Kiberu ne Minisita omubeezi ow’Obwegassi mu Gavumenti ya wakati, Hon. Kyeyune Haruna Kasolo mu Bulange e Mengo.
Ensisinkano eno yetabiddwamu, ebitongole ebikwatibwako ku nsonga y’obwegassi mu Gavumenti ya wakati okuli; Uganda Micro-finance Regulatory Authority, Micro-finance Support Center, ne Project For Financial Inclusion in Rural Areas (PROFIRA), ate ku ludda lw’Obwakabaka kwabaddeko Olukiiko lwa Boodi ya Sacco, ssenkulu wa Bicul n’abaddukanya Essuubiryo Zambogo Sacco.
Image may contain: 3 people, people sitting and indoor