Breaking
News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,305 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Essomero lyonna erinasangibwa lisasuza abazadde okukebera abaana covid lwakubonerezebwa – Hajji Ismael Mulindwa

January 6, 2022 · Mubiru Ali
Hajji Ismael Mulindwa, Director wa Basic Education mu Minisitule y’ebyenjigiriza, avuddeyo nategeeza nti kyabulalu amasomero okuvaayo negalagira abazadde okusasula ssente zokukebera abaana COVID-19. Ono agamba nti essomero lyonna erinalemerako okusasuza abazadde ssente zino gakubonerezebwa.
Amasomero agasinga mu Kampala n’emiriraano gabadde galagidde abazadde okukebeza abayizi batwale PCR test results ezitasukka ssaawa 72 ku lunaku lwokudda ku masomero. Abalala balagidde abazadde okusasula ssente zino nti abayizi bakukeberebwa ku masomero.
Mulindwa agamba nti amasomero kino gakikola kwongera bazadde buzibu kuba bakyanoonya ssente zakuzza baana ku ssomero. Ayongeddeko nti bakoze okunoonyereza nebakizuula nti amasomero mangi gakifudde kyabuwaze ate nga basaba ssente ezisinga kwezo ezisasulwa kati. Ayongeddeko nti abalala bawadde laboratories ezobwannanyini ezitalina lukusa kukola PCR.