Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 332 listening Simba FM Live

Essomero lya Wairagala Primary School liri mu mbeera mbi

June 5, 2018 · Mubiru Ali

Abayizi ku ssomero lya Wairagala Primary School erisangibwa mu Budaka District embeera mwe basomera yenyamiza olw’obutaba nabibiina. Bano basanga obuzibu naddala mubiseera by’enkuba, mumusana wamu ne mumpewo ennyingi. Wadde nga basanga okusoomozebwa balina abayizi ab’ekibiina eky’omusanvu nga bano bagenda kuvuganya n’abayizi abalala okwetoloola eggwanga.

Essomero lino lyatandikibwa mu mwaka gwa 1935 wabula oluvannyuma lifuulibwa erya gavumenti mu 2011 nga lirina ebibiina bibiri byokka nga bino bikolanga Staff room, store, effumbiro, library ne ofiisi y’omukulu w’essomero. Essomero lino lirimu abaana 711 nga lirina abasomesa 10 bokka.

Abayizi batuula wansi, basomera wansi wamiti n’ebibiina ebitonnya kabuyonjo gyebalina emu yajula dda nga bagigabana n’abasomesa n’entebe 37.