BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Equity Bank eragidde baleete omulwadde ali ku oxygen okubawa ssente eziri ku akawunti ye

Olunaku lw’eggulo abasawo okuva ku ddwaliro lya Norvik bawaliriziddwa okutwala omulwadde ali ku Oxygen mu bbanka ya Equity okufuna ensimbi ze asasule ebisale by’eddwaliro. Kigambibwa nti omulwadde yabadde alina okukyuusibwa eddwaliro atwalibwe mu ddwaliro lya Nakasero wabula nga balina okusooka okusasula ebisale by’eddwaliro gyabadde. Abaana b’omulwadde bagezezaako okufuna ssente okuva ku akawunti y’omulwadde wabula abakulira bbanka eno e Wandegeya nebabagaana okufuna ensimbi zino.
Mutabani w’omulwadde William Kavuma agamba nti eddwaliro terinenyezebwa kuba babadde balina okumukyuusa eddwaliro wabula nga tebanasasula nsimbi za ddwaliro, agamba nti batuukiridde abakulira bbanka ya Equity wabula nebagaana okubawa ensimbi okuva ku akawunti ya Kitaabwe nebabategeeza nti alina okugenda mu bbanka.
Kavuma agamba nti basabye ne Manager wa Equity Bank eyazze nakuba ebifaananyi by’omulwadde wabula oluvannyuma nabategeeza nti abakulu ku kitebe ekikulu bagaanye ekyabawalirizza okumussa mu ambulance nebamutwala mu bbanka eno.
Nakato Molly muwala w’omulwadde naye agamba nti Taata waabwe yabadde yetaaga ensimbi okusasulira eddwaliro era abakulu okuva mu bbanka ab’enjawulo bazze okukakasa nti ddala mulwadde wabula tewali kyebakozeewo ekyabawalirizza okutwala omulwadde mu bbanka e Wandegeya.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply