Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 337 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Enzikiriza ezimu zaava dda ku byawandiikibwa ebitukuvu – Minisita Fr. Lukodo

June 20, 2017 · Mubiru Ali

Minisita avunaanyizibwa ku mpisa n’obwesimbu Rev. Father Simon Lukodo agamba nti enteekateeka eneerambika obulungi ebikwatagana n’ enzikiriza ezitali zimu y’eneeyamba okuggyawo enzikiriza ez’amakoonezi ezeeriisa enkuuli ku kulya ku bakkiriza obulindo bw’ensimbi. 

Lukodo agamba nti abakugu okuva mu Minisitule eno baatandise dda okubuuliriza ku nsonga ezitali zimu n’enzikiriza ez’enjawulo kibayambe okuvaayo n’omubumbirano ogunaaba amakula 

Ffaaza Lukodo yabadde ayogereganyaamu n’omusasi wa Luboggola n’agamba nti enzikiriza ezimu zaava dda ku byawandiikibwa ebitukuvu nga kati zeekolera byazo nga omwo mwatwalidde ne Nabbi Samuel Kakande gwagambye nti aguza abagobererezi omuceere gwayita omutukuvu . 

Agamba nti  mu nteekateeka eno n’ebintu ebirala ebisinzibwa bijja kulambikibwa bulungi kubanga waliwo n’abantu abasinza ebintu ebitategeerekeka.