Breaking
News: Wuuno omusajja atanywa guteeka, muganzi we Side Dish mukazi we atali mu maka amuggyeeko ekyalaani kye yamugulira lwakufuna lubuto lutali News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka?
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 121 listening Simba FM Live

Envubu emize omwana oluvannyuma nemuwanda – CP Fred Enanga

December 12, 2022 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo omwana ow’emyaka 2 mu Disitulikiti y’e Kasese envubu gweyamize oluvannyuma nemusesema nga mulamu. Paul Yiga 2 nga abeera nebazadde be e Katwe-Kabatooro Town Council mu Disitulikiti y’e Kasese okuliraana ennyanja Katwe. Kigambibwa nti envubu okumumira yabadde azannyira okumpi n’ennyanja.
Abatuuze bwebamumazeemaze nga tebamulaba ate nga balengera envubu eyolekera amazzi kwekutandika okukuba enduulu eyabuli kika, era kigambibwa nti envubu yandiba nga yawulidde oluyogaano olususse kwekusesema omwana ono.