Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 336 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Enteekateeka z’olunaku lw’abajulizi zigenda mu maaso

May 22, 2018 · Mubiru Ali

Nga ebula enaku mbale olunaku lw’abajulizi lutuuke abalamazi okuva mu bitundu ebyenjawulo batandika dda ku lugendo olubatuusa e Namugongo nga muno mwemuli abe Lira nga bano bakatambula kilo metre nga 100 ku kilo metre 340 ate bo banaabwe abavudde e Kanungu bayise dda e Sanga mu district ye Kiruhura.

Kwo okuyooyota ekifo kugenda mu maaso omuli okusaawa ekifo kyonna, okusiiga langi n’ebirala.

Wadde nga ekifo kino kikyaali kisibe waliwo abalamazi okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo abamaze okutuuka era nga n’abalala bali mukubo. Byo eby’okwerinda binywezeddwa nga abo bokka abalina ebiboogerako bebakirizibbwa okuyingira ekifo kino.

Bo abategesi b’omwaka guno aba Diocese ye Tororo bakutandika olugendo lwabwe nga 25 – May – 2018 era nga basuubirwa okutuuka nga 2 – june – 2018.