Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 74 listening Simba FM Live

Enteekateeka z’emikolo gy’amatikkira ga Kabaka ziwedde

July 27, 2016 · Mubiru Ali

Obwakabaka bwa Buganda bagamba nti enteekateeka ziwedde ez’omukolo gy’amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka ag’emyaka 23.

Omukolo gwakuyindira mu Ssaza lya Ssaabasajja Kabaka ery’ e Butambala nga 31 omwezi gwa Kasambula.

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenjigiriza mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek Prosperous Nankindu agamba nti ebikujjuko bigendera ddala mu maaso nga balindirira omukolo omukulu. Nankindu bino abituuseeko ng’akwasibwa ensimbi ezisoba mu bukadde 13 okuva mu Kampuni ensogozi ya Soda eya Century Bottling Company.

Agamba nti ensimbi zino zigenda kuyambako mu nteekateeka y’omukolo gw’amatikkira ga Omuteregga Ssebuufu bwa ngo.