Enteekateeka z’amatikkira aga 28

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Olukiiko Oluteesitesi olw’e Buddu nga bali wamu n’olukiiko Oluteesitesi olukulu olukulemberwa Omumyuka ow’Okubiri owa Katikkiro era Minisita webyensimbi n’okuteekerateekera Obwakabaka, Owek Robert Waggwa Nsibirwa, lubakanye ne kaweefube w’okukola oluguudo olugenda ku Lubiri e Nkoni era omulimu wetwogerera bino gutambula bukwakku.
Kino kikoleddwa okusobozesa Empologoma Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II okuyitamu obulungi wamu n’okwanguyiza abagenyi be okutuuka mu Lubiri okwetaba ku Matikkira aga 28 nga 31st omwezi guno.
Omulamwa gwa #Amatikkira28 guli; Obuwangwa n’ennono, entabiro y’enkulaakulana.
Share.

Leave A Reply