Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 225 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Enteekateeka za ttabamiruka w’abakyala ziwedde

May 3, 2019 · Mubiru Ali

Olunaku lw’eggulo Minisita w’abakyala, eby’enjigiriza, eby’obulamu, ekikula ky’abantu, n’ensonga za woofiisi ya Nnabagereka, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, yawadde enteekateeka ya ttabamiruka w’abakyala wetuuse era akunze abakyala n’abantu ba Beene yonna gyebawangaalira bajjumbire ttabamiruka ono kubanga agenda kuba wa byafaayo kuba Ssaabasajja asiimye okusomesa abakyala ku nsonga z’eby’obulamu.
Mu lukungaana lwa Bannamawulire olwatudde olunaku lweggulo Owek Nankindu yagambye nti ttabamiruka ono agendereddwamu okusomesa abakyala ku by’obulamu.
Abakulembeze b’abakyala mu Masaza ga Buganda, bayogedde ku biki ebikwata ku Masaza gaabwe naddala mu mbeera y’eby’obulamu.
Ttabamiruka w’abakyala waakubeerawo nga 8 May 2019 ku Hotel Africana, nga wakuggulwawo Maama Nnabagereka ate aggalwewo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II. Okuyingira emitwalo 30,000