Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 243 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Enteekateeka yokukuza amazaalibwa ga Kabaka ag’e 65 efulumye

February 8, 2020 · Mubiru Ali

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II wakujaguza okuweza emyaka 65 nga 13th April 2020, nga entikko y’emikolo yakubeera ku Lutikko e Lubaga.

Wabula ng’ebyo tebinnabaawo, wategekeddwayo emikolo eginaakulemberamu nga gino gyakutambula bwegiti.

Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka (birthday Run) 5th April.

Olusiisira lwebyobulamu 8th April

Ekyoto 9th April. nga kino kyakubeeramu okusomesa ku bintu ebikwata ku bulamu bw’abantu eby’enjawulo.

Amazaalibwa ga Kabaka ku Lutikko e Lubaga 13th April.

Bwabadde ayanjulira bannamawulire enteekateeka eno, Ssentebe w’akakiiko akateesiteesi Owek David Mpanga asabye abantu okwenyigira mu nteekateeka zino basobole okuziganyulwamu.
Oluvannyuma lw’emmisa e Lubaga, Ssaabasajja Kabaka asiimye okugabula ba kateyamba e Nalukolongo.