Breaking
News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 232 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Enteekateeka y’Obwakabaka ey’okugema abantu Ssenyiga Kolona okwekikungo eyongezeddwayo.

January 24, 2022 · Mubiru Ali
Gyebuvuddeko Obwakabaka bwalangirira okuddamu okugema covid19 okwekikungo nga 29th ne 30th Gatonnya ku Bulange wabula enteekateeka eno ekyuusiddwamu olwensonga ezitali zimu.
Mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku Bulange olwa leero, Minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu mu Bwakabaka Oweek Dr. Prosperous Nankindu Kavuma agambye nti olw’omuwendo gw’abantu abangi abajja okugemebwa ku Bulange omulundi oguwedde, waliwo obwetaavu bunene obw’okuteekerateekera abantu bano mu kugema okwekikungo okuddako.
Owek Nankindu yeebazizza abantu ba Buganda olw’okuwulira omulanga gwa Kabaka nebajja mu bungi okugemebwa era asabye abo abaagemebwa ku mulundi ogwasooka, batunule ku kaadi zaabwe bamanye ddi lwebanaafuna akayiso ak’okubiri era bagende ku malwaliro agabali okumpi bafune ddoozi endala.
Wabula Oweek Nankindu Kavuma ategeezeza nti olunaku olunaaba lusaliddwawo lujja kutegeezebwa abantu basobole okujja ku Bulange bagemebwe.