Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 1,332 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ensonga y’okutulugunya abaana tegwanidde kusaagirirwa – Kadaga

June 28, 2017 · Mubiru Ali

Akubiriza olukiiko olukulu olw’eggwanga ,  Rebecca Alitwala Kadaga attukizza buto enteekateeka mweyayita gyebuvuddeko  nga agamba nti ensonga y’okutulugunya abaana n’okubamalako emirembe tegwanidde kusaagirirwa kubanga emirundi mingi abaana bagenze bayisibwa mu ngeri nga eyo ate okukkakkana nga bafaafaaganye ng’entungo eyiika. 

Kadaga bino abyogedde wakati mu kukubaganya ebirowoozo n’abamu ku babaka  mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga nga batunuulira engeri y’okutyoboola eddembe ly’abaana ku mubala ogugamba nti “Kiki ekyetaagisa okukomya ebikolwa eby’obukambwe ku baana “.

Kadaga agambye nti obusiiwuufu bw’empisa bukutte wansi ne waggulu kubanga n’abazadde abamu abaali abantu bagenze bafuuka ebyetere.