Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 259 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ensimbi zitabudde abakulembeze mu Disitulikiti y’e Mubende

March 26, 2018 · Mubiru Ali

Ensimbi ezisoloozebwa ku batambuza ebisolo okubitwala mu butale mu Disitulikiti y'e Mubende, zitabudde abamu ku bakulembeze mu  Disitulikiti eno zebagamba nti zooleka obulyake n'okutulugunya abantu.

Nuwagaba Gordon nga ono y'akiikirira eggombolola y'e Manyogaseka ku lukiiko lwa Disitulikiti โ€‹ y'e Mubende ategeezezza nti kyannaku okulaba nga tewali mutemwa gwa nsimbi ku bisolo ebitwalibwa mu butale okuli embuzi, ente n'endiga ekiviiriddeko buli ggombolola okubeera nga eteekawo ensimbi ezaayo ekinyigiriza abalunzi n'abatambuza ebisolo mu kitundu kino olw'obutabawo muwendo gufaanagana.

Annyonnyodde nti enkola eno ey'abavunanyizibwa ku bisolo okwesalirawo ensimbi bokka kiviiriddeko Disitulikiti y'e Mubende okufiirwa omusolo bw'atyo kwe kusaba wabeerewo etteeka erirambika enkola eno.