Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 1,429 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Ennyumba ebadde esigaddewo mu Lubiri lw’Omusinga ekutte omuliro

January 28, 2021 · Mubiru Ali
Amawulire agava mu Rwenzururu galaga nti ekizimbe ekibadde kikola nga amaka g’Omusinga Charles Wesley Mumbere bwekyakutte omuliro nekisirikka mu kiro ekikeesezza olunaku olwaleero. Ne Offiisi ye naye terutonze era nga ekivuddeko omuliro guno tekinategeerekeka.
Dr Nathan Walemba, omu kubatuula ku Lukiiko lwa Rwenzururu agamba nti ekizimbe ekyayidde kyekyokka ekibadde kyasigalawo mu Lubiri lwabwe nga mwemubadde n’ebintu ebyobuwangwa.
RDC wa Disitulikiti y’e Kasese Lt. Joel Walusimbi bwabadde ayogerako eri Bannamawulire avumiridde ekikolwa ky’okwokya ennyumba eno era nasaba abantu okusigala nga bakakamu ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Ye Omuduumizi wa Poliisi owa Rwenzori East SP Wilson Asiimwe agamba nti bakyanoonyereza ekiviiriddeko omuliro guno era nakiriza nti

Uganda Police Force

yavunaanyizibwa ku kukuuma ekifo kino nga n’abasirikale ababadde bakuuma batandise dda okunoonyerezebwako.