Ebisigalira by’abantu wamu nebipapajjo by’ennyonyi ya Lion Air Boeing 737 Max 8 JT-610 eyabadde eva e Jakarta nga edda e Sumatra yagudde mu Nnyanja kirimulaala eya Java nga yakabuuka eddakiika 13 nga yakasimbula.
Eno yabadde nnyonyi mpya nga ettise abasaabaze 189 wamu n’abakozi era nga mpaawo yasimattuse.




